Isaiah 34:6-10

6Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
7 aEmbogo zirifiira wamu nazo,
n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
n’enfuufu erinnyikira amasavu.

8 b Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
9Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,
bulimbo kifaanana ng’ennoni

n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
Ensi ye erifuuka ng’obulimbo
bulimbo kifaanana ng’ennoni
obuggya omuliro.
10 eTalizikizibwa emisana n’ekiro,
n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
Copyright information for LugEEEE